Yakobo 1:18 — Yalondawo ku bubwe ________ okutuzaala, ng’ayita mu kigambo eky’amazima, tulyoke tubeere ng’abaana be ababereberye mu lulyo lwe oluggya.
yekka
ekisa
olwa
Abaggalatiya 4:6 — Era kubanga tuli ________, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aba, Kitaffe.”
baana
Uliya
Seera
Ebikolwa by’Abatume 8:12 — Naye bwe bakkiriza obubaka bwa ________ ng’abuulira ku bwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo abasajja n’abakazi ne babatizibwa.
Kerode
Fesuto
Firipo
Abaruumi 6:11 — Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga ________ abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
okuba
ekitiibwa
omusango
Lukka 8:15 — Naye ezaagwa ku ttaka eddungi be bantu abalungi era abeesigwa, era bakuuma ekigambo ku mitima ne babala ________ n’obugumiikiriza.
bulijjo
ebibala
amateeka
Zabbuli 1:2 — Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama, era mu mateeka ago mw’alowooleza ________ n’ekiro.
emisana
ennyanja
emikisa
Yoswa 1:8 — Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako ________ n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana.
emisana
empewo
engabo
Abaebbulaniya 10:24 — era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ________ ebirungi.
ebikolwa
abatukuvu
ebitundu
2 Peetero 3:18 — Mweyongere ________ mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina.
okukula
omuyigirizwa
Amagoba
Abaruumi 13:11 — Mumanye nga kino kye kiseera, era ________ etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza.
Okubikkulirwa 7:9 — Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ________ ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe.
mulyango
Ssabbiiti
ekibiina
1 Peetero 1:5 — Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olw’okukkiriza kwammwe, n’abatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa ________ mu biro eby’enkomerero.
okutuukirira
olumuli
okubikkulirwa
Yuda 1:24 — Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu ________ lye, era n’okubatuusa mu maaso ge ag’ekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu;