Olubereberye 2:15 — Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro ________ agirimenga era agikuumenga.
Goseni
Adeni
Kaamu
Olubereberye 3:1 — Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ________ zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’”
n’ebintu
amannya
ensolo
Olubereberye 3:6 — Awo omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ekibala kyagwo n’alya; n’awaako ne ________ naye n’alya.
ekkubo
omutwe
bba
Olubereberye 3:8 — Awo ne ________ eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba.
obutuukirivu
bawulira
n’ekizikiza
Olubereberye 6:5 — Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ________ lyonna.
ebbanga
embuzi
omuwala
Olubereberye 8:20 — Awo ________ n’azimbira Mukama ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
Seera
Nuuwa
Mesuseera
1 Peetero 2:24 — Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri ________. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.